Bya Ritah Kemigisa
Emirambo 16 ginyuluddwa okuva mu Nnyanja Albert olwaleero, oluvanyuma lwe lyato lyebaali batambuliramu okugwamu mu gandaalo lya sabiiti.
Abamu ku bagenze kitegezeddwa nti babadde basambi ba mupiira mu Fofo football team esangibwa mu district ye Hoima.
Eryato lino kigambibwa nti lyabaddeko abantu 50 nga babadde bava ku mwalo gwe Fofo mu gombolola ye Buseruka nga badda ku mwalo gwe Runga mu gombolola ye Kigorobya e Hoima.
Kati munamawulire wa NTV Joyce Nakato ngali ku nyanka, atubuliidde nti emirambo giwereddwa abenganda okuziikibwa.