Bya Ritah Kemigisa
Presidenti Museveni Nga’yambaza Prof. Mukiibi Omudaali Olwo’kutumbula Ebyenjigiriza
Munnabyanjigiriza, omutandisi wamasomero ga St. Lwarence Schools, Prof. Lawrence Mukiibi afudde amakya ga leero ku ddwaliro lya Norvick mu Kampala gyamaze ngajanjabibwa ekirwadde kya ssukaali okumala wiiki eziwera.
Okusinziira ku muyambi wa Professor, Diana Nyanzi omugenzi asizza ogwenkomerero ngabusaasa olwaleero.
Ono ategezezza nti omugenzi obulamu bwatabanguka okuva ku lunnaku Lwokuna ngabadde mu waadi yabayi ngasiriza ku byuma.
Diana akungubagidde omugenzi ngamwogeddeko ngabadde omukozi, taata eri abayizi be, era akoze ennyo mu kutumbula ebyenjigiriza mu gwanga.
Kati entekateeka zokuziika zibadde tezinafuluma, wabula tutegeddeko nti omulambo gukyakolebwako mu ddwaliro oluvanyuma olumbe lugenda kukumibwa mu e Kimuli-Kitemu kulwe Masaka mu district ye Wakiso.
Omugenzi Mukiibi, omwaka oguwedde yafunako akabenje ke mmotoka era natwalibwa ebweru we gwanga okujanjabibwa era okuva olwo kigambibwa embeera yobulamu bwe tebadde nnungi.