Bya Prosy Kisakye ne Ivan Ssenabulya
Omubiri gwabadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga wetwogerera nga gustusiddwa ku lutikko e Rubaga, gyagenda okuzikibwa olwaleero.
Guleteddwa mu bukuumi bwa poliisi, nga gukulembeddwamu bandi ya poliisi, wakati mu namungi womuntu azze okwetaba mu kuziika kuno.
Ssabasumba Lwanga yasangibwa nga yafudde munda mu kienge kye, ku lunnaku Lwomukaaga, ngabasawo bazudde nti yafa kirwadde kya mutima.
Mungeri yeemu, entambula yebidduka etataganyizidwamu, okusinziira ku nnambika poliisi gyekoze, olwentekateeka yokuziika.
Amakubo agamu mu division ye Rubaga, poliisi etegezezza nti gagenda kusalwako.
Amyuka omw’ogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire, agambye nti oluguudo ku nkulungo ya Nabunya, ku nkulungo ya Kabusu, ku ddwaliro e Rubaga ne Mutesa Road, byebimu ku bifo webaganda okusalirako.
Abagenda okukirizibwa okukozesa Rubaga Road bebe mmotoka bokka abalina sitiika nenkyukakyuka endala.