Skip to content Skip to footer

Poliisi eyiiriddwa e Kotido

File Photo:Aba Police nga balawuna
File Photo:Aba Police nga balawuna

Poliisi n’amaggye biyiiriddwa mu kibuga kye Kotido nga eyesimbyewo ku lulwe Amama Mbabazi ateekateeka okukuba olukungaana lwe mu kitundu kino.

Waliwo akasattiro mu kibuga kye Kotido nga poliisi eyiye bampi n’abawanvu kko n’abajaasi nga Mbabazi atalaaga disitulikiti eno.

Mu kitundu kyekimu emmotoka ezitimbiddwako ebipande bya NRM zirabiddwako nga zeetala.

Agavaayo era galaga nga aba NRM bwebawadde aba bodaboda amafuta okuyisa ebivvulu.

Leave a comment

0.0/5