
Eyesimbyewo ku bwa pulezidenti nga talina kibiina Amama Mbabazi ateeredde poliisi n’akakiiko k’ebyokulonda Akaka nga abalumiriza okubeeramu kyekubirira.
Olunaku olw’eggulo ssabapoliisi w’eggwanga Gen.Kale Kaihura ne ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng.Badru Kiggundu baalabudde bonna abesimbyewo okwewala ebikolwa ebikuma omuliro mu bantu nga bakozesa n’obubinja obwabakubi b’emiggo.
Wabula eyali ssabaminisita Mbabazi agamba bano buli kyebakola kirimu kyekubirira wabula nga buli kimu bakukisasulira.
Mungeri yeemu Mbabazi yemulugunya olwa pulogulau gyeyabadde aguze ku lediyo mu bitundu bye Karamoja okusazibwamu sso nga y’abadde amaze okusasula.
Mbabazi agamba gavumenti y’eri emabega wabuli kimu okumulemesa.
Wabula ategezezza nga bw’agenda okusooka okwogera nebananyini radio gyeyabadde alina okwogerera bamubulire ogwabadde nga tanasalawo kiddako.
Mbabazi agamba y’asasula emitwalo 80 nga y’ali wakwogera okuva ku ssaawa ssatu okutuusa ssaawa 4 ez’ekiro wabula oluvanyuma nebamutegeeza nti enteekateeka eno baali bajisasizzamu.
Mungeri yeemu Mbabazi agamba kikwasa ennaku okulaba nga pulezidenti Museveni alimbalimba abantu okumulonda n’obulabo labo ssaako ne sukaali.
Mbabazi agamba okusinga kino kili mu bitundu bye Kigezi.