Poliisi ye Luweero ekutte abantu babiri oluvanyu,a lw’omusenze okutabukira nyini ttaka n’amutema amajambiya n’amutta lwa nsonga za ttaka.
Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lamecka Kigozi atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga Moses Kakooza nga ye nanyini ttaka attiddwa omusenze Moses Sebunya.
Kigozi agamba nti enjega okubaawo kiddiridde ssentebe w’ekitundu kino okuyita bano bakkaanye, wabula Ssebunya azze na kiso nga tebategedde okukkakkana ng’afumise Kakooza okutuuka lw’amusse.
Kati poliisi eriko abantu babiri b’ekutte nga nabo babadde mu Lukiiko , okuyambako mu kunonyereza.