Bya Damali Mukhaye ne Ndaye Moses .
Olunaku olwaleero ekitongole kya UNEB lwekifulumizza ebyavudde mu bibuuzo by’abaana aba S.6 nga bino biraze nga abaana bwebaakoze obubi okukira ku baana abaakola mu mwaka gwa 2016.
Ebifulumye biraze nga abaana abafunye principle pass esatu bwebaabadde 34,819, songa abafunye principle pass 2 bali 26,122, ate 1,141 bbo baagudde
Kati ono agamba nti kumutendera gwa university abaana abaafunye obubonero obubatwalayo bali 60,941, kale nga bano bakola ebitundu nga 60.7%.
Bwabadde asoma ebivudde mu bibuzo bino, akulira ekitongole kino ekya UNEB Dan Odong agambye nti kati abaana abatuka ku muteneda guno bazze bakendeera, era nga ku luno baakendedde n’ebitundu nga 4%
Mungeri yeemu kizuuse nga abaana abawala baabade batono dala , nga kubaana abaatula , abawala baakozeeko ebitundu 41.4%
Mukubala okwangu abaana ebitundu 98.5% kwabo 101,269 abatuka ebibuuzo bebaayise, nga kuno ogaseeko nabo abaafuna principle pass emu , wabula nga tebayinza kwegatta ku university.
Ate kumundera gwa district kizuuse nga Wakiso yeyakulembedde, ne kudako, Kampala buyikwe nendala, songa ete district ezaasinze okukola obubi kuliko Nakapiripirit,Napak,Kotido,Buvuma , Dokolo n’endala.
Ate ye ssentebe w’ekitongole kino Proff.Marry ategeezeza nga bwekiruma okuba nga nekumutendera guno abaana bakyakoppa, anti ebibuuzo by’abaana 79 byakwatiddwa