Bya Ben Jumbe .
Ministry ekola ku by’obulamu esabiddwa okufuba okunonyereza ku ndwadde ezibalukawo nga bukyali, nga kwogase n’okukaza amaaso ku ndwadde enkambwe eziyinza okubalukawo nadala mu kaseera kano ak’enkuba etandise.
Kuno okusaba kukoleddwa akulira ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde Dr Festus Luboyera bweyabadde ategeeza egwanga embeera y’obudde mu myezi 3 egijja.
Dr Luboyera agamba nti endwadde nga malaria, Cholera ne Typhoid zitera okweyongera, kale nga ensonga eno egwana okwetegereza.
Kati ono mungeri yeemu asabye nabalimi okwetegerekara okusiga, songa era bagwana nokwetegekera amazzi gebanakozesa singa ekyeya kitandika