Skip to content Skip to footer

Ababundabunda mu uganda baakubalibwa bonna.

Bya Ritah Kemigisa.

Akakiiko akakola ku nsonga z’ababundabunda mu kibiina ky’ensi yonna, kategeezeza nga bwekamaze okutongoza enkola egenda okuyitwamu okubala ababundabunda abali mu uganda bonna.

Bano webaviirideyo nga kyakazuuka nti waliwo abakungu mu office ya ssabaminister abagezza omuwendo gwababundabunda abali mu uganda okukakana nga babye ensimbi.

Twogedeko n’omwogezi w’akakiiko kano Teresa Ongaro, n’agamba nti kaweefube ono wakutandika nga March 1st  okutuusa mu September 2018, nga kino kigenderedwamu kumanya muwendo mutuufu ogwababundabunda abali mu uganda.

Wabula ono akitaanyiza nga ensonga zensimbi zababundabunda bwezitanakosa nkolagana yaabwe ne office ya ssabaminista.

Leave a comment

0.0/5