Skip to content Skip to footer

Kamoga Na’balala 5 Gubamezze

KOOTI

Bya Ruth Anderah

Eyali akulira aba-Tabliq Sheikh Yunus Kamoga nabantu abalalal 5 bwebabadde bavunanibwa okutta abakulembeze babayisraamu basingisiddwa emisango gyobutujju.

Abalala 5 kuliko Muganda wa Shekh Kamoga, Multaph Bukenya, Sheikh Siraje Kawooya, Abdul Salam Ssekayanja, ne Fahad Kalungi.

Bano basingisiddwa emisango mu kooti enkulu ewozesa ba kalintalo nabatujju, wabula gyo emisango gyobutemu kooti bonna 14 ebejjerezza.

Bano okubasingisa emisango abalamuzi besigamye ku bigambo byabwe n ga kigambibwa nti bawulirwangako nga batiisatiisa Omlangira Kasim Nakibinge nomumyuka wa Supreme mufti Shekh Muhammod Kibaate.

Oludda oluwaabi lubadde lugamba nti bano bakuba nebifanayi byabantu bano nebatandika okubisasanya wonna mungeri yokwekobaana okuluka olukwe okubatusaako obulabe.

Kati ate abalala 8 ku banatu bano 14 kooti ebejerezza.

Abalamuzi Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggudu, basizza kimu bukuyege nti oludda oluwaabi lulemererddwa okukakasa okuva mu bajulizi baabwe 36 nti abavunanwa bonna betaba mu butemu.

Bgambye nti abagenzi Shiekh Bahiga ne Ibrahim Kirya abatta baali kuka Boda Boda, songa abakola obutemu oluvanyuma badduka, atenga mpaawo yakwatibwa yadde nokuzza emmundu eyogerwako nti yeyakozesebwa.

Abalamuzi era bajjunguludde obujuluzi bwoludda oluwaabi nti bano balinamu enkayana mu bukulembeze bwobusiraamu ekyabavirako, obutemu nti bino balemererddwa okubikakasa.

Abasingisiddwa emisango bagenda kuweebwa ebbonerezo olunnaku olwenkya.

Leave a comment

0.0/5