Bya Shamim Nateebwa
Entiisa ebutikidde abatuuze be Gangu mu zooni ya Kimwanyi omusajja abadde akola obwamakanika mu Galagi e Katwe bweyetuze oluvannyuma lwokulwalira ebanga eddene nga talina amufaako.
Omugenzi ategerekese nga John Sserwanja owe myaka 35 nga mu kiseera kino Polisi ye Kibiri nga enkulembedwamu ajitwala John Gavin omulambo agututte emulago era navumirira ekikolwa kyokwetugga.