Skip to content Skip to footer

Kamoga Na’balala 3 Babasibye Mayisa

KOOTI

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu ewuliriza emisango egya naggomola The International Crimes Division High Court esindise eyali akulira ab-tabuliqu mu gwanga Sheikh Yunus Kamoga ne Muganda we Multabh Bukenya nbalala 2 Sheikh Siraje Kawooya ne Fahad Karungi mu kkomera obulamu bwabwe bwonna.

Abalamuzi Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggudu aba 4 bano bagambye nti baali bakulembeze mu bisiraamu nga baalina obuvunyizibwa okugatta abagoberezi baabwe mu kifo kyokwetaba mu bikolwa ebyobutujju.

Ate abala 2 bwebasingisddwa emisango gyebikolwa ebye kitujju olunnaku olwe ggulo, Yusuf Kakande ne Abdu-Salam Ssekayanja babasindise mu nkomyo okumala emyaka 30 buli omu.

Bwebabadde babawa ebibonerezo, abalamuzi bagambye nti bama-sheikh emisangi egyabasse mu vvi gya naggomola, nga gyekuusa ku butujju, nga bino bikolwa byabulabe eri abantu mu gwanga nensi yonna.

Kati embeera ebadde ya nnaku, eri abayisiraamu abazze ku kooti mu bungi, okubaawo ngabasaale ngabalamuzi basoma ebibonerezo bino.

Bangi bakulukusizza namaziga

Bano kigambibwa nti baliko ebigambo byebafulumyanga okutisatiisa omuangira Kasim Nakibinge nomumyuka wa Supreme mufti Muhammod Kibaate nga bafulumya nebifananyi byabwe okubisasanya wano na wali.

Abalamuzi bagambye nti abakulembeze babayisraamu abafa Shekh Mustahp Bahiga ne Ibrhima Kirya, okufa kwabwe bakulinamu omukono.

Abantu bano 6, okuli 4 absibiddwa amayisa nababiri absibiddwa emyaka 30 bebamu ku bantu 14ababdde bavunanibw okutemula abakulembeze babasiraamu.

Wabula bano babejerezza emisango gyobutemu,  ngabantu 8 kati balya butaala, songa 6 babasingiszza emisango gya bikolwa ebyekitujju.

Leave a comment

0.0/5