KAWEMPE
Bya Dmalie Mukhaye
Mayor we Kawempe, Emmanuel Sserunjogi akwatiddwa akawungeezi kano olwokutataganya aba KCCA nga bakoa emirimu gyabwe.
Rusoke Kituma, akulira ebikwekweto bya KCCA ategezezza nti Sserunjogi ategezezza nti wabaddewo engeri gyebagezaako okulungam,ya ebyentambula ku Mambule Road e Kawempe, wabula yye nanawuka okuwakanya ekibadde kikolebwa nebo kwekukozesa poliisi nemukwata.
Ono mu kaseera kano akumibwa ku poliisi e Kawempe.
Kati omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju agambye nti enneyisa ya mayor ebadde tesanidde.