Bya Damali Mukhaye.
Leero Bannakibiina kya FDC baakedde kutuula wali ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi okwetaba mu kugaba omusaayi, kyoka bakanze kulinda abakugu okuva mu kitongole ekigaba omusaayi bagukime nga mpaawo atuuka.
Amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold Kaija, agamba nti babade bakaanyiza naba Blood transfusion service nti okugaba omusaayi kutandike ku saawa satu ez’okumakya okutuusa ku saawa kumi neemu akawungeeezi, kyoka entekateeka yonna egudde butaka.
Wabula tugezezaako okwogerako n’akulira ekitongole ky’e terekero ly’omusaayi Dorothy Kyeyune natutegeeze nti akyalina akafubi kaalimu.