Bya Samuel Ssebuliba.
Ababaka ba Parliament okuva mu West Nile batabukidde government nga baagala eveeyo etunule mu by’enjigiriza mu district ezibudamya ababundabunda .
Mukaseera kano uganda esuza babudandabunda 1.4 okuva mu mawanga nga Sudan ne Congo era nga abasing babeera mu West Nile .
Kati omubaka wesaze lye Obongi Hassan Kaps Fungaro agambye nti amasomero geeno gonna gabooze abayizi okuli n’ababundabunda, kyoka nga n’abasomesa abaliwo batambula olugendo lwa Kilometer 50 okutuuka ku masomero
Ye speaker Rebecca Kadaga agambye nti ensonga y’ababundabunda y’amaanyi, wabula nga bagenda kufunayo akadde boogere ku nsonga zino mubujuvu.