Bya Magembe Sabiiti
Waliwo omusajja atanaba kutegerekeka manya ge, asangiddwa ngatiiddwa mu bukambwe mu kibuga Mubende.
Omulambo gw’omusajja ono gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga gujudde ebiwundu maaso okumpi ne park ya tax mu kibuga Mubende.
Abamu ku batuuze mu kitundu kino bategezezza nga omusajja ono bweyandiba nga yatiddwa oluvanyuma lw’okwenyigira mu bubbi.
Police omulambo egujewo negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende okwekebejebwa.
Yye omuddumizi wa police e Mubende Okoyo Martine ategezezza nga bwebatandiise okunonyereza ku bantu abenyigidde mu ttemu lino.