KALERWE
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi yoku Kalerwe eggalidde abateberezebwa okuggula walagi ne bamutabulamu obutwa n’ekigendererwa okutta buli eyandimunyweddeko.
Abakwatte kuliko Ambrose Mbatidde owemyaka 19 nga mutuuzi wa Cakalacakala ku luguudo lw’oku Kaleerwe nga mutuuze w’omu kaleerwe zooni ne Fred Ssebaggala owemyaka 25 ngakola gwa kuttikula birime katale ka Bivamuntuyo.
Okukwatibwa kiddiridde oluvannyuma lw’abantu okubakwata lubona nga bateeka obutwa bw’emmese mu walagi olwo nebayitta poliisi .
Atwala poliisi y’oku Kaleerwe Isaac Ongom ategeezezza nga bwebabakanye okunoonyereza ku baakwatiddwa okuzuula ensibuko y’olukwe Omusango guli ku fayiro namba SD REF: 02/16/08/2017.