
Entebbe ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Matiya Lwanga Bwanika ayagala etteeka mu kulonda likyuuka.
Agamba bannayuganda bandisoose kulonda bakulembeze bokubyalo nga tebanalonda bakulembeze b’eggwanga.
E Kawempe omusasi waffe Sam Sebuliba atutegezezza nga abeeno balabika nga tebatategedde nti olunaku olwaleero lwkuwumula nga era eby’okulonda ssibyebaliko.
E Kayunga abasinga bakedde kulima nakukama nte zaabwe ebyokulonda ssibyebaliko enyo.
Bano bagamba nti mukulonda omukulembeze w’eggwanga obululu bwatuuka kikerezi kale nga tebalaba nsonga lwaki bakeera omusana okubookyera obwerere.
Sound
Ate e Mubende omu ku besimbyewo ku bwa ssentebe bwadisitulikiti Francis Kibuuka Amooti amaze okusuula akalulu ke.ono avumiridde abamusiiga enziro nti ssi munnaMubende.