File Photo : Abantu nga bisimbye olwakasota
Entebbe ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Matiya Lwanga Bwanika ayagala etteeka mu kulonda likyuuka.
Agamba bannayuganda bandisoose kulonda bakulembeze bokubyalo nga tebanalonda bakulembeze b’eggwanga.
E Kawempe omusasi waffe Sam Sebuliba atutegezezza nga abeeno balabika nga tebatategedde nti olunaku olwaleero lwkuwumula nga era eby’okulonda ssibyebaliko.
E Kayunga abasinga bakedde kulima nakukama nte zaabwe…
