Bya samuel ssebuliba.
Police wano e Entebbe ekutte munansi wa Rwanda nga ono kigambibwa nti akidde omwana gwazalira dala ow’emyaka etaano namutta
Akwatidwa ye Pierre Pauline ow’emyaka 43, nga ono kigabibwa nti oluvanyuma lw’okufuna okunyigirizibwa mu by’ensimbi akidde mutabaniwe n’amutta nga ono ye Baptist Byamukama.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, agamba nti ono okukola kino amaze kutamiira nadda ku mwana okumukuba.
Mukaseera kano agudwako gwabutemu.