
Ye minisita w’ensonga za ssemateeka Kahinda Otafire alabudde ekibiina okwewalira ddala obusosoze mu kulonda abaddukanaya ekibiina.
Otafire agamba buli Muntu Alina okuyisibwa obulungi awatali kusosola mu myaka.
Agamba abamu ku bannakibiina abakadde bakyalina kinene kyebasobola okugasa ekibiina kale nga basanye okuweebwa omukisa okugenda mu maaso n’okuwereza ekibiina kyabwe
Otafire okwogera bino nga abamu ku bannakibiina abakadde nga Maj Gen Matayo Kyaligonza bemulugunya nga agamba kigenderere mukoddomi wa pulezidenti Museveni okugyayo foomu z’okumuvuganya ku kifo ky’amyuka ssentebe w’ekibiina mu bugwanjuba bw’eggwanga.