Skip to content Skip to footer

Eyaganza omwana wa mwanyina akaligiddwa.

Bya Ruth Anderah.

Omuvubuka ow’emyaka 19 awereddwa ekibonerezo kyakukola busibe mu komera e Luzira okumala emyezi 3 lwakuganza mwana wamwanyina ow’emyaka 10 gyoka.

Kalifan Ramadhan nga mutuuze we Nabweru esibiddwa  omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo, nga ono amuwadde ekibonerezo oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango guno.

Kigambibwa nti omuvubuka ono omwana gwe yali aganzizza baali  basula  naye  mu nyumba  emu  n’ekisenge  kimu.

Omusango yaguzza nga October 14th 2015 e Nabweru mu district ye Wakiso, era nga abadde amaze emyaka egikunikiriza mu  ssatu ku alimanda.

.

Leave a comment

0.0/5