Bya Ndaye Moses.
Abakola ku bya Insurance bategeezeza nga bwebategeseewo omusomo ogw’enjawulo nga muguno mwebagenda okujukirira eyaliko mayor wa Kampala , naavuganyako ne kubwa president John Ssebaana Kizito kaakano omugenzi.
Twogedeko n’akulira olukiiko olufuga Insurance Institute of Uganda Solomon Lubondo naagamba nti basazeewo okujukira Ssebana Kizito kubanga yakola kinene okulaba nga insure zikula mu Uganda
Ono agambye nti omusomo guno gwakubaawo ku lwakusatu , era nga muno mwebagenda okusalira entotto kubutya bwebagenda okukulakulanya ekisaawe kino .