
Loodi meeya wa Kampala aweze okugenda mu maaso n’okulwanirira omuntu wawansi nga azze mu ofiisi y’obwaloodi meeya.
Amangu ddala nga amaze okusuula akalulu ke wali e Wakaliga, Lukwago ategezezza nga bwatayinza kukkiriza Muntu wawansi kunyigirizibwa sso nga bebamu ku basasula emisolo egikulakulanya Kampala.
Lukwago aweze okulwanirira enkola y’amateeka mu Kibuga Kampala okusobozesa abakikoleramu okukyeyagaliramu.
Asanyukidde ekya pulezidenti Museveni okunenenya akulira ebyekikugu mu KCCA Jeniffer Musisi okukozesa omukono ogwekyuma ku bannakampala ekyaviriddeko okuwangulwa mu kibuga ekikulu
Wabula Lukwago alabudde pulezidenti Museveni obutaddamu kukozesa lulimi luvvoola bakulembeze mu Kampala nga abayita emmese.