Skip to content Skip to footer

Ekibinja ky’abavubuka abalumbye ekifo webalondera- Kamuli

File Photo: Abavubuuka nga beziiza ekifo webalondera
File Photo: Abavubuuka nga beziiza ekifo webalondera

E  Kamuli waliwo ekibinja ky’abavubuka abalumbye ekifo webalondera ekye kasambira  mu gombolola ye Bugulumbye nebawamba abalondesa, olwo bbo nebatandika okulonda mungeri yabwe.

Eno embiranye okusinga eri wakati wa Munna NRM Tomas kategere, navuganya kubwanamunigina Kwemula Charles, nga bano beegwanyizza bwa ssenetebe wa district.

Kati bano olutuse basoose kuwamba bakola ku byakulonda bonna okubadde nabakuuma dembe, olwo nebatandika okulonda okutuusa lwebakooye nabadduka.

Mukaseera kano ababadde bakola ku byokulonda basazeewo okuduka baviire ekibabu, nga bagamba tebayinza kukolera mumbeera nga eno eyokutisatisa.

Leave a comment

0.0/5