MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Kaitikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga azeemu okujukiza abakulembeze bonna ku mitendera egy’enjawulo okuteeka essira ku byobulimi Uganda bweba yakuvunuka olukokobe lwobwavu mu kaseera kano mweri.
Katikiro bino aby’ogogeredde wali mu lukiiko lwa Buganda e mengo, nga luno lugenderedwamu kw’ebulirira ku kwogera kwa ssabasajja kabaka okwaliwo sabiiti ewedde okwomulundi ogwa 25.
Owembuga agambye nti eby’obulimi mu Uganda ly’ekubo lyoka mwerina enkizo, nga kigwana kikulembezebwe mu byonna.
Katikiro yoomu on asabye abaganda okwetanira enkola eyokulaama , kino kitase emitawaana egidirira nga omuntu afudde.
Mungeri yeemu aabakungu ssabasajja beyasiima okuwa ekirabo eky’amafumu ne’ngabo lwebabikwasidwa.
Ku bano kubaddeko Owek Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere eyaliko Katikkiro wa Buganda, owek. Godfrey Kaaya Kavuma, Omugenzi James Mulwana, omugenzi Rosaria Kyoteeka, omugenzi John Ssebaana Kizito n’Omugenzi Yvonne Namaganda ng’ono yali muyizi ku Buddo junior school eyafiira mu muliro ogwakwata ekisulo ky’essomero bweyali ataasa banne..