Bya Ruth Anderah
Abayisiraamu Basaba
Kooti enkulu ewulira omusango gwabantu 14 abavunanibwa ogwokutta abakulembeze babayisiramu essaawa yonna egenda kuwa ensala yaayo ku musango guno ogumaze emyaka kyenkana 3 okuviira ddala mu 2014.
Ebbanga ttono emabagekao abalamuzi batuuse, nebakalira eranga ennamula yaabwe yakuweebwa akawun geezi kano.
Solomon Muyita akola ku byamawulire mu kitongole ekiramuzi ytegezezza nti basazeewo omusango guno okuggujulula okuva ku ssaawa 3 ezokumakya, kooti weyabadde esssubirwa okutuula abalamuzi bonna 3 basobole okubaawo.
Abalamuzi oukuli Ezekiel Muhanguzi, Jane Kigundu wamu ne Percy Tuhaise bebali mu mitambo gyomusango guno.
Abavunanwa kuliko eyali akulira aba- Tabliq Sheikh Yunus Kamoga, nga bavunabibwa okuttta abakulembeze babayisiram okuli Shekh Mustafah Bahiga eyatibwa e Bwebajja, Sheikh Hassan Ibrahim Kirya gwebatira e Bweyogerere, ne Dr Sheikh Haruna Jjemba gwebatira we Wattuba mu Wakiso.
