Skip to content Skip to footer

Aba FDC batandise okuperereza Besigye

Waliwo ekibinja kya bannakibiina kya FDC abatandise okuperereza eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye okukwata bendera y’ekibiina kino mu mwaka 2016

Besigye ayalekulira emirimu gy’ekibiina mu mwaka 2012 enfunda eziwera azze ng’ategeeza nga bw’atajja kwesimbawo okutuuka ng’amateeka g’ebyokulonda gatereezeddwa

Banna FDC bano bakulembeddwamu Robert Mayanja ne Jethro Nuwagaba nga bagamba nti Besigye y’asobola okuyuuya pulezidenti Museveni mu kalulu akajja

Batandise okukunga abantu okuwagira Besigye okwetoloola eggwanga lyonna

Leave a comment

0.0/5