Abaserikale ba poliisi mu gombolola ye Ndagwe mu disitulikiti ye Lwengo bali mu kattu lwakulagajjalira mirimu gyabwe nebadda mu kutamirukuka.
Ssentebe w’egombolola eno James Mukasa agamba abaserikale abasinga emirimu baagivako badda mu kukoona bidde mu kifo ky’okukwasisa amateeka nga eno abatuuze babibwako ebyabwe n’okutibwa.
Mukasa agamba ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Makondo ne Kabuyoga nga eno kizibu okusanga omuserikale nga ssimutamiivu.