Oluvanyuma lwabakenuzi okweyongera mu uganda,kati kalisoliso wa gavumenti ategeezeza nga bweyetega okuwebwa obuwumbi 3 okutondawo akakundi akananoonyereza ku misango egyenkizo
Bino gyogeddwa kalisoliso wa government Irene Mulyagonja bwabade alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka.
Ono agamba nti zino ensimbi okusinga zigenda kukozesebwa mu kuwandiisa abakugu 38 abanakola emirimo gino, nga kwogasse n’okugula ebyuma eby’ekikugu ebimala