Bya Damali Mukhaye
Ab’ekibiina kya FDC babakanye ne kawefube w’okuwandiisa abo bonna abazze batulugunyizzibwa poliisi nga n’abalala baabulawo nga era tebatwalibwanga mu kkooti.
Bano okuvaayo bwebati kiddiridde abaakwatibwa ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Kaweesi okutegeeza nti ku poliisi ye Nalufenya babatulugunya ebitagambika.
Omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda ategezezza nga bwebaatadde ebitabo ebyenjawulo ku ofiisi z’ekibiina okwetolola eggwanga buli yatulugunyizibwa yewandiise basobole okulondoola ensonga zaabwe.
Nganda era akalatidde ebibiina by’obwanakyewa obutavaayo buvi kuvumirira bikolwa byakutulugunya wabula bibeeko nekyebikolawo.