Bya Magembe sabbiiti
Embeera mu dwaliro lya gavumenti elya Kakabala health Center
111 eKyegegwa eyungula eziga nga abalwadde bona basuzibwa mu
kasenge kamu akalimu ebitanda bitaano, ate nga akasenge omuzalira
abakyala kalina ebitanda bibiri byoka.
Ssentebe we gombolola ye Kakabala Lwakyaka Abdulu ategezeezza
nga eddwaliro lino bwerikola ku balwadde abasoba mitwalo
mukaaga .
buli mwezi abasawo bazalisa abakyala abasoba mu
nsanvu kyokka nga tebalina webazalira yadde aw’okusula kwossa
okubanga abasajja nabakazi , abalwadde b’akafuba n’abaana basula
mu kasenge kamu.
Omubaka akikirira ekitundu kino mu palament ekya Kyaka North
Asaba Paul agamba nti eddagala eliwebwa amalwaliro eKyegegwa
terimala nga kyekiseera ministry ye by’obulamu okusumusa
eddwaliro lino ssaako ne lya Kyegegwa health Center 1V
lifulibwe eddwaliro ekkulu