Bya Kyeyune Moses.
Speaker wa Palamenti Rebecca Kadaga kyadaaki ayimirizza entuula za palamenti zonna okutuusa nga ssabaminister Dr Ruhakana Rugunda alabiseeko okunyonyola ensonga lwaki abajaasi abalwanyisa envuba embi batigomya bannayuganda
Kino kidiridde ababaka okulemerako nga bagamba nti tekisoboka okusigala nga bateesa , kyoka nga ssabaminisita alinga abayisaamu amaaso.
Kinajukirwa nti eggulo, sipiika yataamye nategeeza nga ssabaminisita bwalina okulabikako atangaaze ku ky’okuliisa abavubi akakanja awatali kwebuzabuza.
Kati okubulawo olwaleero kyekiretedde ababaka okubadde owe Buvuma Robert Migadde okutabuka nebasaba sipiika okuteesa okwongezeeyo okutuusa nga ssabaminisita yenyudde.
Kati sipiika alabudde Dr Rugunda okukomya okuyisa olugaayi mu palament.