Ssebuliba samuel
Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi aliko ekiwandiiko kyafulumizza, nga ayanukula police, ku bukwakulizo bwemutaddeko bwanaaba akomawo olunaku olw’enkya
Kinajukirwa nti ono Police emutegeezeza nti tewagenda kubaawo bivulu byakumwaniriza, era nga kukisaawe ab’oluganda bokka bebagenda okumwaniriza.
Mukwanukula nga asinziira mu kibuga Amsterdam gyali kakano , Kyagulanyi agamye nti tekikirizika police okutandika okumutegeeza waagenda okuyita, abagenda okumwaniriiza,kko newayina kulaga nga atuuse mu gwanga
Ono agambye nti mpaawo waaluganda agenda kumwaniriza nga police bwerowooza, wabula ab’emikwano, kko n’abayimbi beebagenda okumukima
Ono agambye nti bwava e Ntebe wakugendako wano e Najjanankumbi alabe ku jajjaawe omulwadde, bwava awo agenda Kamwokya alye eky’emisana n’emikwanogye, bwanava awo alyoke ayolekera Magere mu Kyadondo.
Wabula ono alabudde police obutamwesembereza, kubanga munnayuganda nga abalala, era nga alina edembelye okweyagalira munsiye.