Amawulire
Bamusse lwakagaali
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Kisoro enonyereza ku butmu obwakoleddwa ku musajja gwe, atamanyikiddwa mu kitundu bwebamukubye amayinja agamusse.
Bino bibadde ku kyalo Kibaya mu gombolola ye Nyakabande e Kisoro abantu abatanamanyika bwebakubye omugenzi gwebatebereeza okubeera mu myaka 25 amayinja nebamutta.
Wabula abamu batebereza nti alabika yasangiddwa ne ggaali enzibe, okusinziira ku ssentebbe we kyalo.
Kati omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Eli Matte, agambye nti omulambo kati gutwaliddwa mu ddwaliro lye Kisoro okwekebejjebwa nga nokunonyereza kugenda mu maaso.