Amawulire

Gwe batebereeza okubba pikipiki yetuze

Gwe batebereeza okubba pikipiki yetuze

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2019

No comments

Joseph Ssali (Taata Mmeeza) omu kubalabikira ku lukalala lwebaakutte n’ateeberezebwa okutta owa bodaboda Derick Mulindwa mu katambi akatambudde ennyo ku mikutu emiyunga bantu, Aloysius Tamale eyeeyita Young Mulo, yeewaddeyo eri police y’e Buwama mu district ey’e Mpigi.
Oluvannyuma lwa police y’e Mpigi n’ekitongole ki Flying Squad okukwata Young Mulo ono ku lwokutaano lwa week ewedde, yasangibwa n’akapapula mu ngoyeze okwali amannya ne namba z’essimu n’ebifaananyi bisatu eby’abantu; Joseph Ssali, Hassan Namumbya, Isaac Ggayi, Sarah Kaitesi, Christine Abenanye, Mariam Nakato, Edward Nakibinge, Moses Mugwanya, Susan Nakazibwe, Peter Sserujja ne Prize Byamukama.
Abavuzi ba bodaboda olusomye mu mawulire nebalamu erinnya ly’oyo gwebamanyi Joseph Ssali, beekunze nebalumba ekyalo Ssango mu ggombolola y’e Buwama ono gyeyateeka amakaage.
Olutegedde nti alumbiddwa, yeemuludde n’amasuka okukkakkana nga yeetutte yekka ku police gyakuumibwa mu kiseera kino.
Omu ku balwanirizi b’eddembe mu town y’e Buwama Ssaalongo Henry Paul Kinaalwa atubuulidde nti Joseph Ssali yaakakwatibwako emirundi ebiri ng’ogumu avunaanibwa n’ogwokubiri abadde alipotinga ku poliisi e Buwama era ng’ateeberezebwa okubba piki yamukoddomiwe ategeerekeseeko erya Nampagi.
Kigambibwa era nti ebbanga siddene emabega yabba piki bbiri ezaali ez’omukyala omu ku kyalo Kayanja nti era kw’olwo yasimatuuka bweyakubwa abatuuze bubi nnyo n’aweebwa ekitanda.
Ebikwata ku Joseph Ssali ono police ekyeremye okubaako nekyebyogerako naye nga kati akuumibwa mu kaduukulu ku police e Buwama era tukitegeddeko nti agenda kujjibwawo bamwongereyo ku kitebe kya police mu town e Mpigi.