Bya Sadati Mbogo
Abatuuze ku mwalo gwe Busimuzi ku bizinga by’e Bunjakko mu district y’e Mpigi baguddemu ekyekango oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omuvubuka ategerekeseeko erya Mpanga nga gugobgye ku lubalama.
Mu kunonyereza okukoleddwa, kizuuliddwa nti omuvubuka yabadde awuga ku mwalo e Golo mu ggombolola y’e Nkozi n’awagamira mu butimba obukwata engenge n’alemererwa okuvaamu okukkakkana ng’afudde.
Police okuva e Buzaami ngeyambibwako ab’amagye abakuuma ennyanja banyuludde omulambo guno, oluvanyuma guwereddwa aboluganda okuziikibwa.