Bya Prossy Kisakye, Poliisi y’e Sironko eriko emmundu gyezudde ey’ekika kya AK47 munyumna yateberezebwa omuba omubbi.
Bino bibadde ku kyalo Bushikori mugombolola ye Bukulo mu disitulikiti ye Sironko
Omwogezi wa police mu bitundu bya Elgon Robert Tukei atubulidde nti e mmundu gye bazudde baali bagibba ku poliisi positi ye Buyobo mu disitulikiti y’e Sironko.
Ono ayongedeko nti ateberezebwa okuba nti yabadde agikozesa nga kati yadduse oluvanyuma lwa poliisi okuzinda amakage abadde nga aludde nga awenjezebwa ku misango gy’obutemu n’obubbi
Tukei ayongedde nategeeza nti emmundu eno ebadde ekozesebwa mu bubbi n’obutemu mu kitundu kino
Abantu bataano bebakwatibwa nga nomuyigo ku mubbi ono bwegugenda mu maaso.