
Waliwo omusajja ateeberezebwa okubeera omubbi akubiddwa emiggo n’asuulibwa mu ggombolola y’e Kibalinga
Kiteeberezebwa nti omusajja ono aludde ng’abba obubaati obukwata amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba okuva ku mayumba g’abantu, ssaako n’okuzinda ensuku z’abantu okubbamu emmere.
Omusajja ono atategeerekese mannya ge abatuuze babadde balowooza nti bamusse, wabula police wetuukiddeyo ng’akyalimu akassa n’ebamukunguzza okumutuusa mu ddwaliro ekkulu e Mubende; naye ng’okuwona emagombe wakusimba yo