Skip to content Skip to footer

Ezisasula abaali bassabaminista zibuze

nsibambiMinisitule y’abakozi ba government etegeezeza nga bwekyatoba n’eddibu lyakawumbi kalamba ezirina okusasula obusiimo bw’abaali abakulembeze mu gavumenti kumitenedera egy’enjawulo.

Abamu ku balina okuganyulwa mu nsimbi zino kuliko abaali abakulembeze b’eggwanga, abaali abamyuka n’abaali ba ssabaminisita.

Bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’abakozi Catherine Bitaralwate ategezezza nga ensonga eno bwetakonebwako mu mbalirira etesebwako 2016/2017.

Ono kati asabye akakiiko kano okuteeka minisitule y’ebyensimbi ku ninga ebawe ssente zino bazisasule bananyizi zo.

Leave a comment

0.0/5