Ate Poliisi eMubende egobaganye nabatuuze abasoba mu 200 abagobwa ku ttaka mu mu gombolola ye Madudu mu district ye bwebabadde batambula okwolekera amaka g’omubaka omukyala akikirira district ye Mubende Benny Namugwanya Bugembe.
Kinajukirwa nti abantu bano bagobwa kutaka lya musiga nsimbi Ali Abaasi ku ttaka eliwerako obunene bwa sqaure mile ezisoba 6 okuva ku byalo bitaano mu gombolola ye Madudu
Bano mukaseera kano babade banoonya wakubeera okumala akabanga
Kati leero babade basazeeo okugenda eowmubaka ono abalage awokusula.