Poliisi etegeezeza nga bwekutte abantu musanvu e Kasese nga bano bateberezebwa okuba nga bebabade baduumira obubinja obutta abantu mu kitundu kino.
Abakwate kuliko Elias Muhindo,Ali Tembo,Alex Muhindo, Nelson Bwambale ne Kapurango
Kubano kuliko ne Faruk Katakamawa ne John Kibanza nga bano basawo bakinansi ababde bawa abavubuka ebilagala nga babalimba nga bwebagenda okufuna amaanyi agenjawulo baleme okukubwa amasasi.
Wabula ayogerera police Fred Enanga agambye nti mukaseera kano embeera ekakkanye