Amawulire
Embwa bajisanze ery’omulambo gw’omwana
Bya Prosy Kisakye
Poliisi mu district ye Luweero eriko omukazi gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti aliko kyamanyi ku mulambo gw’omwana ogw’abadde guliibwa embwa.
Okusinzira ku Rose Nakanjako omutuuze ku kyalo Ntangaala, yabade mu nnyumba mutabani we namuyita oluvanyuma lw’okulaba embwa ng’esikasika n’omulambo gw’omwana.
Ono anyonyodde nti bagenze ewa ssentebe w’ekyalo Samuel Kakoza oluvanyuma eyatemezza ku poliisi.
Omudumizi wa poliisi e Luwero Ahmed Lushana agambye nti baleese embwa ekonga olusu, maka g’omukyala omu, baamukute okwongera okunonyereza.