Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa mukenenya, katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okwerinda ennyo.
Katikkiro agamba nti kyannaku okulaba nti kati siriimu ate azze mu bavubuka abasomyeeko amanyi buli kimu ‘engeri y’okumwewalamu.
Agamba nti Buganda yakusigala ng’alabula abavubuka ne bannayuganda bonna ku mukenenya kubanga ssabassajja kabaka yetaaga balamu
Abazadde balumbiddwa obutakola kimala kulwanyisa bulwadde bwa mukenenya.
Kiddiridde alipoota efulumiziddwa okulaga nti kati siriimu ate avulujiza mu baana abali wakati w’emyaka 10 ne 19 yadde ng’ate abamufuna bakendedde.
Siriimu ono asinga mu bawala abato nga bakubisa mu balenzi emirundi esatu.
Minisita akola ku by’obulamu mu gavumenti ey’ekisikirize Dr Lulume Bayiga agamba nti abazadde bangi basuulawo dda abaana baabwe tebafaayo kulaba byebakola ekikosezza eneeyisa yaabwe
Bayiga agamba nti abazadde abasinga kati bakulembeza mirimu nebaleka abaana baabwe gyebigweera nga bali ku basajja bakadde ate nga kati n’abavubuka abato babaza abakazi abalina ensimbi.
Gujabagira ssinga omwana aba ava ku maka agatalina n’alaba ku nsimbi.
Asabye abazadde okujjukira obuvunaanyizibwa bwaabwe balabirire abaana.
Minisitule ekola ku kikula ky’abantu okudda ku mulamwa gw’okulambika abaana baabwe okukendeeza ogw’abo abefumbiza nga bato.
Obufumbo bw’abatannaba kwetuuka businga mu disitulikiti ye Kalangala, Amudat, Otuke ne Kasese.
Minisita akola ku nsonga ezekuusa ku kikula ky’abantu Mululi Mukasa agamba nti kino era kivuddeko abaana okuva mu masomero.
Minisitule y’ebyobulamu etongozezza layini y’essimu ey’obwereere mu kawefube w’okulwanyisa mukenenya
Essimu eno egenda kubeera ku ddwaliro ekkulu e Mulago, ng’abasawo basobola okukuba nebebuuza ku ngeri y’okukwatamu ensonga z’abaana abali wansi w’emyaka 15.
Akulira Baylor Uganda Dr. Jacqueline Balungi agambye nti abasawo mu malwaliro agatali gamu tebamanyi ngeri yakukwatamu bavubuka nga beetaga obuyambi.