
Eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Joseph Mabirizi eby’okukuba olukungaana mu Kabuga ke Pallisa abivuddeko nga yekwasa enkuba.
Mabirizi ekibuga akiyingidde kawolawola nga n’abawagizi be bamwekanze atuuse.
Kati guno mulundi gwakubiri nga Mabiriizi asazaamu enkungaana nga yekwaasa ensonga ezitali zimu nga negyebuvuddeko y’asazaamu olwe Butalejja ne Kibuku.
Mabirizi avudde mu mmotoka neyeggana enkuba ku lubalaza lwa Stanbic Bank oluvudde eyo n’abuuza ewali woteri alye ku mmere era olumaze n’abulawo.
Yye Dr Kiiza Besigye akyagenda mu maaso n’okutalaaga ebitundu bye Agago ng’obwedda ajja ayimirira okubuuza ku bantu abamulinze.