Skip to content Skip to footer

Aba NRM balabuddwa

lumumba kasule

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM alabudde bannakibiina abamegebwa mu kamyufu oluvanyuma nebesimbawo nga abatalina kibiina.

Mukyala Justine Kasule Lumumba okulabula kuno yakuyisizza atongoza okuwandiisa bannakibiina wali e Masaka ku woteeri ya Garden Courts e Masaka.

Lumumba agamba baakuteesa emikono ku ndagaano abantu bonna abegnda okwesimbawo mu kamyufu nga teri kwesimbawo nga abatalina kibiina nga bawanguddwa.

Lumumba era y’alabudde abakukulembeze ba NRM okuwagira ab’oludda oluvuganya gavumenti ku kifo kyonna nti baakukangavvulwa.

Okuwandiisa bannakibiina kya NRM kutandika ku lwokutaano lwa wiiki eno ku byalo n’amagombolola.

Leave a comment

0.0/5