Agava mu Burundi galaga nga bwekirangiridwa nti omukulembeze w’eggwanga lino Pierre Nkurunziza ne gavumenti ye bavunikiddwa
Omu ku bakulu mu maggye Godefroid Niyombareh ategeezezza bannamawulire nti akavuyo kaweddewo, era nga bakozeewo n’akakiiko akeetongodde kebatuumye National salvation committee okugira nga kafuga eggwanga lino.
Kaakano emikutu gyamawulire gyonna mu ggwanga lino gyogeraku kuvuunikibwa gwa gavumenti era nga okucacanca kulabiddwako mu bitundu ebimu, ssonga amaggye geebulunguludde Radio y’eggwanga
Abasibe bonna era abazze bakwatibwa mu kwekalakaasa nabo bayimbuddwa nebegatta ku bali ku nguudo
Bino byona bigenze okubaawo nga Nkurunziza agenze mu gwanga lya Tanzania okuteesa ku kavuyo akabedde mu ggwanga lye okumala wiiki ssatu.
Wano, mu Uganda , abakugu mu kusengejja ensonga batutegeezeza nti newankubade kyannaku, naye kibade tekyewalika
Omukenkufu okuva e Makerere Mwabusha Ndebesa atubuulide nti okuwamba kw’amaggye tekwekwegombesa , wabula nga mu kavuyo nga kano kyekyokka ekibadde kiyinza okutaasa eggwanga
Ono agamba nti kino kisaana kibe kyakuyiga eri abakulemebeze bonna , nti akadde bwekatuuka ng’abantu bakukooye teweetaga kubalemerako.
Mu balala aboogede kwekubadde n’eyeliko ssentebe wa FDC Dr. Kiiza Besigye , ng’ono agambye nti abakulembeze ku mitendera gyonna beetaga bamanye nti okudibaga obukulemebeze ebivaamu kusindiikirizibwa.
Yye omubaka we Bukoto mu buvanjuba, Florence Namayanja agamba nti keekadde bannabyabufuzi bazuukuke.
