Amawulire

Omusajja alumyeko omukazi ennyindo lwa mmere

Omusajja alumyeko omukazi ennyindo lwa mmere

Ivan Ssenabulya

August 12th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omusajja mu district ye Mayuge alumyeko mukyala we ennyindo, bwaluddewo okumuwa emmere.

Bino bibadde ku mwalo gwe Bugoto mu gombolola ye Bukaboli mu district ye Mayuge.

Kansala wekitundu kino ku lukiiko lwe gombolola Majid Mukuve agambye nti omusajja olumaze okukola kino nadduka, era kati aliira ku nsiko.

Omukazi Babra Namugaya kati awereddwa ekitanda mu ddwaliro lya Kwagala Clinic gyafunira obujanjabi.