Bya Abubaker Kirunda
Omusajja gwebateberezza okubba kooko abatuuze bamukakanyeko n’ebamukuba n’ebamutta.
Bino bibadde ku kyalo Bukawongo mu gombolola ye Bukaboli mu district ye Mayuge.
Omugenzi nga tanategerekeka mannya wabula ateberezebwa okubeera mu myaka 30, -nga bamusanze mu kooko womu ku batuuze.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi avumiridde ebikolwa byokutwaliiranga amateeka mu ngalo, nakakasa nti batandise okunonyereza.