Amawulire

Omutuuze afiridde mu kidiba

Omutuuze afiridde mu kidiba

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

ntiisa ebutikidde abatuuze abatuuze ku kyalo Kyazanga mu district ye Lwengo omusajja owemyaka 25 bwafiridde mu mugga.

Omugenzi ye Ivan Ninsima ngabadde mutuuze ku kyalo Nakalinzi mu gombolola ye Kyazanga e Lwengo.

Okusinziira ku abadde mukama we Stanley Kabesingaki, Ninsima omugemnzi baasembye okumulaba aawungeezi akayise   nga kibewunyisizza okumusanga mu kidiba nga mufu.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Paul Kangave akakasizza bino, nagamba nti bagenda kukwatagana nabakulembeze okujjayo omulambo guno.